Isaiah 5:1-7

Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu

1 aKa nnyimbire omwagalwa wange oluyimba
olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.
Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu
ku lusozi olugimu.
2 bEra n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,
n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.
Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.
N’agisimamu n’essogolero
n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi
naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.

3 c“Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda,
munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.”
4 dAte kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno,
kye ssaagikolera?
Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi,
lwaki saalabamu mirungi?
5 eKaakano muleke mbabuulire
kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.
Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.
Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.
6 fEra ndigireka n’ezika,
sirigirima wadde okugisalira.
Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.
Ndiragira n’ebire
obutatonnyesaamu nkuba.

7 gEnnyumba ya Isirayiri
y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.
Abantu ba Yuda
y’ennimiro gye yasiima.
Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.
Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.
Copyright information for LugEEEE